Add parallel Print Page Options

17 (A)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[a]

18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

21 (B)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:17 Abafalisaayo baayagalanga nnyo ensi yaabwe, era baalwanyisa nnyo obufuzi bw’Abaruumi, ate nga bakyawa n’abagoberezi ba Keerodi, abawagiranga Abaruumi. Kyokka mu nsonga eri mu nnyiriri ezo waggulu Abafalisaayo beegatta wamu n’Abakeerodi okutega Yesu n’ebibuuzo. Bwe baagezaako mu bigambo ne balemwa, kwe ku mubuuza obanga kyali kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tekyali kituufu (lunny 17). Singa yaddamu nti tekyali kituufu, Abakeerodi baali beetegese okumuwawaabira eri gavana Omuruumi, era n’oluvannyuma yandisaliddwa omusango gwa kufa. Singa yaddamu nti kituufu, Abafalisaayo baali beetegese okumwogerako nga bw’atabulatabula ensi era nga bw’atayagala nsi ye.

(A)Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.

Read full chapter