Matayo 11:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abakooye n’Abazitoowereddwa
25 (A)Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato.
Read full chapter
Matayo 16:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu.
Read full chapter
Matayo 19:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Yesu n’abaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa.
Read full chapter
Yokaana 6:65
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
65 (A)Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”
Read full chapter
1 Abakkolinso 2:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda.
Read full chapter
1 Abakkolinso 2:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo.
Read full chapter
Abakkolosaayi 1:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.
Read full chapter
1 Yokaana 2:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna.
Read full chapter
1 Yokaana 2:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.