Lukka 6:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga.
Read full chapter
Abaruumi 12:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
Read full chapter
Abaruumi 12:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
Read full chapter
1 Abakkolinso 6:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
Read full chapter
1 Peetero 3:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.