Lukka 6:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)“Naye zibasanze mmwe abagagga,
kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.
Isaaya 32:9-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mmwe abakazi abateefiirayo,
mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
muwulire bye ŋŋamba.
10 (B)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (C)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.