Add parallel Print Page Options

(A)Ensi kyeneeva ekaaba,
    ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
    n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.

Read full chapter

(A)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
    ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
    kubanga yali asunguwadde.

Read full chapter

Misiri eyimuka nga Kiyira,
    ng’emigga egy’amazzi agabimba.
Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna.
    Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’

Read full chapter

(A)Era Mukama, Mukama ow’Eggye,
    akwata ku nsi n’esaanuuka,
    abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
    ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;

Read full chapter