Add parallel Print Page Options

10 (A)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
    mu maaso ga baganzi be,
    so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.

Read full chapter

41 (A)Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso g’abakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo eby’obwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera.

Read full chapter

36 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo,

Read full chapter