Koseya 13:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Nze Mukama Katonda wo
eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
so tewali mulokozi wabula nze.
Ekyamateeka Olwokubiri 8:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 32:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Yamuyisanga mu ddungu,
mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.