Add parallel Print Page Options

11 (A)Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”

Read full chapter

13 (A)Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
    n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
    wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.

Read full chapter

(A)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
    bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
    balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.

Read full chapter

15 (A)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

Read full chapter

(A)Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
    ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
    n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
    era abantu bangi balikomawo.

Read full chapter

15 (A)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
    era tebaliggibwa nate
    mu nsi gye nabawa,”

bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

Read full chapter