Kaabakuuku 2:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
Kwogera ku by’enkomerero
ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
Ekyamateeka Olwokubiri 31:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’
Read full chapter
Isaaya 54:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.