Add parallel Print Page Options

Okuddamu kwa Mukama

(A)“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
    gwe mutalikkiriza
    newaakubadde nga mugubuuliddwa.

Read full chapter

(A)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
    era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
    magezi ki ge balina?

Read full chapter

Obubaka obukwata ku Edomu

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
    Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
    Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?

Read full chapter

(A)Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,

“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
    n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10 (B)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
    oggale amatu gaabwe,
    n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
    oba okuwulira n’amatu gaabwe
    oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”

Read full chapter

19 (A)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
    ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

Read full chapter