Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
    omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
    n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
    Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
    Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
(B)Okufuga kwe n’emirembe
    biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
    n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
    okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    bulikituukiriza ekyo.

Read full chapter

(A)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
    Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
    era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
(B)Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
    era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
    mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
(C)Totya, kubanga nze ndi nawe,
    ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
    era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
(D)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
    n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
    ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
(E)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
    gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
    gwe nakola gwe natonda.”

Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa

(F)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
    abalina amatu naye nga tebawulira.
(G)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
    n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
    Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
    abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 (H)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
    “omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
    mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
    era teriba mulala alinzirira.
11 (I)Nze, Nze mwene, nze Mukama;
    okuggyako nze tewali Mulokozi.

Read full chapter

(A)“Ennaku zijja,
    lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
    akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
(B)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
    ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
    Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

Read full chapter

Oluyimba olw’Essanyu

14 (A)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (B)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.

Read full chapter

10 (A)“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”

Read full chapter

15 (A)“Ggwe muwala wa Sayuuni totya;
    laba Kabaka wo ajja,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”

Read full chapter