Add parallel Print Page Options

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter

(A)Balina omukisa abeetoowaze,
    kubanga abo balisikira ensi.

Read full chapter

29 (A)Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo.

Read full chapter

30 (A)Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
    n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
    ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.

Read full chapter

(A)Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri.

Read full chapter

Obwavu n’obugagga

Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa.

Read full chapter

(A)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?

Read full chapter