Add parallel Print Page Options

(A)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.
(B)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

(C)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
    ng’amayiba agadda mu bisu byago?
(D)Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
    ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
    awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
    Omutukuvu wa Isirayiri,
    kubanga akufudde ow’ekitiibwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani