Add parallel Print Page Options

(A)Amawanga galijja eri omusana gwo
    ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.

Read full chapter

10 (A)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
    era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
    naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 (B)Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
    emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
    nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.

Read full chapter

16 (A)Olinywa amata ag’amawanga.
    Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,
era olimanyira ddala nti,
    Nze, nze Mukama,
nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,
    ow’Amaanyi owa Yakobo.

Read full chapter

Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.

Read full chapter

17 (A)Balirya enfuufu ng’omusota,
    ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
    ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.

Read full chapter