Add parallel Print Page Options

Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu

(A)Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba
    olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
    ku lusozi olugimu.
(B)Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
    n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
    N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
    naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.

Read full chapter

21 (A)Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
    ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
    n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?

Read full chapter

(A)“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira.

Read full chapter

45 (A)Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi.

Read full chapter