Add parallel Print Page Options

(A)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
    n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
    Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
    abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”

Read full chapter

21 (A)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
    Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
    Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
    Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
    tewali mulala wabula nze.

Read full chapter

10 (A)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
    Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
    era ndituukiriza byonna bye nategeka.’

Read full chapter