Add parallel Print Page Options

(A)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
    gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
    gwe nakola gwe natonda.”

Read full chapter

28 (A)Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”

Read full chapter

Mukama, Omutonzi era Omulokozi

21 (A)“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
    oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
    ggwe Isirayiri sirikwerabira.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
    eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
    ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
    ggwe Yesuruni gwe nalonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 44:2 Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri

(A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
    Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
    era tewali Katonda mulala we ndi.

Read full chapter

(A)“Nze Mukama,
    nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
    Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
    era omusana eri bannamawanga.

Read full chapter

(A)Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu
    era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama
olyoke omanye nga nze Mukama,
    Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
(B)Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange
    kyenvudde nkuyita erinnya,
ne nkuwa ekitiibwa
    wadde nga tonzisaako mwoyo.

Read full chapter