Isaaya 37:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala.
Read full chapter
Koseya 9:11-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi
nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
12 (B)Ne bwe balikuza abaana baabwe,
ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
bwe ndibavaako.
13 (C)Nalaba Efulayimu
ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.
Naye Efulayimu alifulumya
abaana be ne battibwa.
14 (D)Bawe Ayi Mukama Katonda.
Olibawa ki?
Leetera embuto zaabwe okuvaamu
obawe n’amabeere amakalu.
15 (E)Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16 (F)Efulayimu balwadde,
emirandira gyabwe gikaze,
tebakyabala bibala.
Ne bwe balizaala abaana baabwe,
nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
17 (G)Katonda wange alibavaako
kubanga tebamugondedde;
baliba momboze mu mawanga.
Isaaya 46:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
Zekkaliya 1:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?
“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.