Add parallel Print Page Options

18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 20 (A)Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”

Read full chapter

(A)Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”

Read full chapter

15 (A)Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ”

Read full chapter