Add parallel Print Page Options

(A)Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
    ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
    ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
    bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

Read full chapter

(A)Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
    Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
    oboolyawo anaawonyezebwa.

Read full chapter

(A)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”

Read full chapter

(A)Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe.

Read full chapter

(A)Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
    Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
    bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”

Read full chapter

(A)“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa.

Read full chapter