Add parallel Print Page Options

13 (A)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
    Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
    era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.

Read full chapter

14 (A)Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.
    Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.
Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,
    era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.

Read full chapter

Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.

Read full chapter