Add parallel Print Page Options

14 (A)Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

Read full chapter

(A)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
    n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
    baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter

(A)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
    nsula mu weema za Kedali!

Read full chapter

(A)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

Read full chapter