Add parallel Print Page Options

(A)Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
    abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
    ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
    nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
    nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
(B)Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
    omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
    tewali kintu kimera.
(C)Abantu basomoka akagga ak’enzingu
    nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
    amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
    n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.

Read full chapter

25 (A)Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba.

Read full chapter