Isaaya 14:24-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli
24 (A)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,
“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
bwe kirinywera bwe kityo.
25 (B)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
26 (C)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 (D)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
Isaaya 45:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Nze nteekawo ekitangaala
ne ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.