Add parallel Print Page Options

(A)N’amawanga mangi galibayamba
    okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
    abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
    bafuge abo abaabakijjanyanga.

Read full chapter

33 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
    awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
    bagaanye okubata.
34 (B)Omununuzi waabwe w’amaanyi,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
    alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
    wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.

Read full chapter

(A)Mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
    twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
    tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

Read full chapter

(A)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
    Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
    alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
    era alibalokola.

Read full chapter