Add parallel Print Page Options

(A)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
    kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Read full chapter

23 (A)Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
    Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
    ne mu maaso g’abakadde.

Read full chapter

17 (A)Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.

Read full chapter

(A)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
    ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
    era tuyitibwa linnya lyo.
    Totuleka.

Read full chapter

16 (A)Mu nnaku ezo Yuda alirokolebwa
    ne Yerusaalemi alibeera mirembe.
Lino lye linnya ly’aliyitibwa nti,
    Mukama Obutuukirivu bwaffe.’ ”

Read full chapter

21 (A)Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
    era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”

Read full chapter

10 (A)“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.

Read full chapter