Add parallel Print Page Options

(A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
(B)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
    oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
(C)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
    era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
    era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.

Read full chapter

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

32 (A)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
    n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.

Read full chapter

16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
    n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.

Read full chapter

30 (A)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.

Read full chapter

(A)Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.

Read full chapter