Add parallel Print Page Options

(A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.

Read full chapter

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (A)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.

Read full chapter

35 (A)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
    n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,

Read full chapter

Essanyu ly’Abanunule

35 (A)Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;
    Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti (B)birimeruka,
    birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
    ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
    ekitiibwa kya Katonda waffe.

Read full chapter

17 (A)Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?

Read full chapter