Add parallel Print Page Options

21 (A)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.

Read full chapter

(A)Abalema ndibafuula abalonde,
    n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
    okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.

Read full chapter

(A)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.

Read full chapter

(A)Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Read full chapter

15 (A)Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
    era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
    mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
    n’akomyawo obugagga bwabwe.

Read full chapter

25 (A)“ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa. 26 (B)Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa. 27 (C)Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu. 28 (D)Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa.

Read full chapter