Add parallel Print Page Options

(A)“Bw’ati bw’ayogera Kuulo[a] kabaka w’e Buperusi nti,

“ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:2 Kuulo Obwakabaka bwa Kuulo bwavanga mu Buyindi ne butuuka ku Misiri, n’okuva ku Nnyanja Emyufu mu guyanja gw’e Buperusi okutuuka mu Esiyopya.

25 (A)Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
    abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
    abe ng’omubumbi asamba ebbumba.

Read full chapter

45 (A)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
    oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
    era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
    emiryango eminene gireme kuggalwawo.

Read full chapter

13 (A)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
    era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
    n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter

43 (A)Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
    ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.

Read full chapter

24 (A)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
    biba byakasigibwa,
    biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
    ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.

Read full chapter