Add parallel Print Page Options

20 (A)Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,
    era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo
n’ebintu ebirala eby’ekivve,
    era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.

Read full chapter

14 (A)Ate ne bakabona abakulu bonna n’abantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera eby’obukaafiiri eby’amawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”

Read full chapter

(A)Siribatunuulira na liiso lya kisa
    newaakubadde okubasonyiwa;
naye ndibasasula ng’engeri zammwe,
    n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’

Read full chapter

Siribatunuulira na liiso lya kisa
    newaakubadde okubasonyiwa.
Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri
    n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.

Read full chapter