Add parallel Print Page Options

(A)“Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu.

Read full chapter

10 (A)Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama.

Read full chapter

(A)“ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu.

Read full chapter