Ezeekyeri 48:15-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 “Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo, 16 (A)era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu. 17 Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga. 18 (B)Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.