Add parallel Print Page Options

17 (A)Balikukungubagira ne bakugamba nti,

“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,
    ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.
Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,
    watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
18 (B)Kaakano olubalama lw’ennyanja
    lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,
era n’ebizinga ebiri mu nnyanja
    bitidde olw’okugwa kwo.’

Read full chapter