Add parallel Print Page Options

20 (A)Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa. 21 Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogw’ekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo.

Read full chapter

20 (A)“Muli mbazzi yange,
    ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,
mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,
    mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
21 (B)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
22 (C)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
    era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
    era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 (D)Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.

Read full chapter