Ezeekyeri 12:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira.
Read full chapter
Ezeekyeri 32:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
era balikuvuba n’akatimba kange.
Yeremiya 2:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)ogamba nti, “Sirina musango,
ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
Ezeekyeri 20:36
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.