Add parallel Print Page Options

(A)Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa.

Read full chapter

26 (A)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (B)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna.

Read full chapter