Add parallel Print Page Options

15 (A)Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.

16 (B)Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago. 17 (C)Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.

Entandikwa y’Embaga Eyitibwa Pulimu

18 Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.

Read full chapter

11 (A)Ekiragiro kya Kabaka ky’awa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana n’okwekuuma; okuzikiriza, n’okutta, n’okusaanyaawo eggye lyonna ery’eggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe n’abaana baabwe abato, ate era n’okunyaga ebintu by’abalabe baabwe.

Read full chapter

17 (A)Mu buli kitundu, ne mu buli kibuga, ekiragiro kya Kabaka we kyatuuka, waaliyo essanyu n’okujaguza n’embaga nnene ddala mu Bayudaaya. Era abantu bangi abamawanga amalala ne bafuuka Abayudaaya olw’entiisa ey’Abayudaaya eyali ebakutte.

Read full chapter

13 (A)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
    abanoonya okunnumya baswale
    era banyoomebwe.

Read full chapter

24 (A)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
    obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
    otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.

Read full chapter