Add parallel Print Page Options

28 (A)Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,
    era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

Read full chapter

(A)Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
    n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

Read full chapter

Okuwuliriza n’okukola

19 (A)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.

Read full chapter

(A)Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.

(B)Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. (C)N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. (D)Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, (E)naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.

(F)Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. 10 Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! 11 Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? 12 (G)Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.

Read full chapter