Engero 13:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Atakozesa kaggo akyawa omwana we,
naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
Okubikkulirwa 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 8:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ng’omusajja bw’akangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bw’akukangavvula.
Read full chapter
Abaebbulaniya 12:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 (A)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.