Ekyamateeka Olwokubiri 5:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene.
N’abagamba nti:
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 5:23-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna. 24 (A)Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro. 25 (B)Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe. 26 (C)Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu? 27 Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe by’anaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”
Read full chapter
Abaggalatiya 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.