Add parallel Print Page Options

10 (A)Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 11 (B)n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.

Read full chapter

27 (A)Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu.

Read full chapter

12 (A)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
    so tewabangawo katonda mulala.
13 (B)Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
    n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
    n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 (C)ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
    n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
    awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.

15 (D)Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
    ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
    n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.

Read full chapter