Add parallel Print Page Options

40 (A)Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”

Read full chapter

21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22 Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 24 (A)Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.

Read full chapter