Ekyamateeka Olwokubiri 33:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
Ani akufaanana,
ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
era onoobalinnyiriranga.”
Zabbuli 46:1-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 (B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 (C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4 (D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 (E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
Ekyamateeka Olwokubiri 32:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
2 Samwiri 22:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
Zabbuli 18:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.