Ekyamateeka Olwokubiri 32:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Jjukira ebiseera eby’edda,
fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
Isaaya 45:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Nze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
Isaaya 45:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.