Add parallel Print Page Options

15 (A)Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa.

Read full chapter

19 (A)Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo:

Read full chapter

Omukisa n’Ekikolimo

26 (A)Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo.

Read full chapter

Okuzza obuggya Endagaano

40 (A)“Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe n’ebyonoono bya bakitaabwe n’obunnanfuusi bwabwe gye ndi n’obujeemu bwabwe, 41 (B)ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe, 42 (C)kale ndijjukira endagaano yange ne Yakobo, ne nzijukira endagaano yange ne Isaaka n’endagaano yange ne Ibulayimu, era ndijjukira n’ensi yaabwe. 43 Naye ensi banaabanga bagivuddemu n’efuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olw’ebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange. 44 (D)Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe. 45 (E)Naye ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, be naggya mu nsi ey’e Misiri nga n’amawanga gonna galaba ndyoke mbeere Katonda waabwe. Nze Mukama.”

Read full chapter

64 (A)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.

Read full chapter

28 (A)Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”

Read full chapter

47 (A)era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi y’abo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’

Read full chapter