Add parallel Print Page Options

24 (A)Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”

25 Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26 Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. 27 (B)Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. 28 (C)Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”

Read full chapter

17 (A)Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’

Read full chapter