Add parallel Print Page Options

Ebikolimo olw’Obutawulira

15 (A)Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:

16 Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo.

17 Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga.

18 Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.

19 Onookolimirwanga ng’oyingira era onookolimirwanga ng’ofuluma.

20 (B)Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse.

Read full chapter

25 (A)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
    era empologoma erye omuddo ng’ennume,
    era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
    wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

17 (A)Balirya enfuufu ng’omusota,
    ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
    ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.

Read full chapter