Add parallel Print Page Options

15 (A)Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”

Read full chapter

14 (A)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.

Read full chapter

Oluyimba nga balinnya amadaala.

123 (A)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
    Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.

Read full chapter

(A)Okufuga kwe n’emirembe
    biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
    n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
    okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    bulikituukiriza ekyo.

Read full chapter

11 (A)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
    naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
    omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.

Read full chapter

20 (A)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
    omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
    naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
    nnina ekisa kingi gy’ali,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
    Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
    Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
    Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.

Read full chapter