Ekyamateeka Olwokubiri 24:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amateeka g’Ebyobufumbo
24 (A)Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye,
Read full chapter
Yeremiya 3:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.
Read full chapter
Koseya 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe
2 (A)Munenye nnyammwe,
mumunenye,
kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
Nekkemiya 5:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.”
Read full chapter
Matayo 18:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 32:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
Isaaya 52:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mwatundibwa bwereere
era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.